Amawulire

NUP bagenda kuloopa ekiwamba bantu mu UN

NUP bagenda kuloopa ekiwamba bantu mu UN

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Ekibiina ekivuganya gavumenti, National Unity Platform kitegezezza nti kigenda kuddukira mu kibiinakyamawanga amagatte okuloopa ekiwamba abantu ekigenda mu maaso mu gwanga.

Agambye nti bagenda kutwalayo ensonga zaabwe mu wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddembe lyobuntu mu Kampala, olunnaku lwenkya.

Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe kyekibiina e Kamwokya, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi asabye aboluganda lwabantu ababuzibwawo okubegattako mu mpaaba eno gyebaganda okutwala ku wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddembe lyobuntu.

Kyagulanyi era abanajizza nti abantu bonna babazze bakwata, bayimbulwe okuva mu kaddukulu.

Eri abawagizi be abawozesebwa mu kooti yamagye, ayagala bawozesebwe mu kooti eya bulijjo.

Kati olwaleero nga Uganda ekuza olunnaku lwa Janan Luwum day, Kyagulanyi ajjukizza banna-Uganda nti ebiseera byabafuzi bamusibira mu bbwa byakomawo, nga kyekiseera okuluma ogwengulu okubirwanyisa.

Mu kwogera kwe ku lunnaku Lwomukaaga, omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni yategeeza nti abantu 177 bayimbulwa, abalala 65 bakyanonyerezebwako.

Wabula olunnaku lwe ggulo Kyagulanyi yafulumizza olukalala lwabawagizi be, ngokusinga bavubuka 243 abazze bakwatibwa atenga bangi agamba bakyagaliddwa.

Olwaleero aba NUP lwebazeemu okukozesa wofiisi zaabwe, abebyokwerinda zebabadde bazingako, nga bazamuse olunnku lwe ggulo, atenga olwaleero Kyagulanyi lwasoose okuva ewuwe nga yasemba okuvaayo nga 14 January ku lunnaku Lwokulonda.