Amawulire

NUP bagala kunonyereza okwanamaddala ku Bbomu

NUP bagala kunonyereza okwanamaddala ku Bbomu

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ab’oludda oluvuganya gavumenti aba National Unity Platform basabye gavumenti, ekole okunonyereza okwanamaddala ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Komamboga, abakoseddwa bafune obwenkanya.

Obulumbaganyi buno bwaliwo ku Lwomukaaga bbomu bweyakubwa ku Digida Pork Joint omuntu omu naafa, abalala 3 nebalumizibwa.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire e Kamwokya m Kampala, omwogezi wekibiina Joel Ssenyonyi anokoddeyo ebizze bibereawo abantu nebattibwa naye newataberawo bwenkanya.

Awakanyizza nebyogerwa nti NUP yandiba ng yakibaddemu n’omukono

Abatujju aba Islamic State baavuddeyo olunnaku lweggulo nebakakasa nti bebakoze obulumbaganyi buno.

Mungeri aba NUP bsabye gavumenti ejjewo kafyu, kubanga bagamba nti takyakola makulu.

Bino webijidde nga gavumenti ya Kenya yajjeewo kafyu, wiiki ewedde.

Kati Ssenyonyi agambye nti kafyu, abakulembeze kuno bakyamulemezaawo atenga balemereddwa okumussa mu nkola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *