Amawulire

NRM Temukozesa bungi bwamwe mu Palamenti Okutigatiga Ssemateeka

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2017

No comments

Bya Rita Kemigisa

Muwala wo’mugenzi Boniface Byanyima, Winnie Byanyima ngera ye ssenkulu wekitongole kya Oxfam International mukyala wa Dr. Kiiza Besigye alabudde gavumenti ya NRM obutagezaako kutigatiga ssemateeka we gwanga kulwebigendererwa byabwe kyayise okweremeza mu buyinza.

Winnie Byanyima bino abyogeredde mu kuziika kitaawe, Omugenzi Boniface Byanyima wali ku kyalo Ruti mu district ye Mbarara.

Obungi bwababaka NRM mu palamnrti tekisaanye kukozesebwa mu bukyamu bwekityo,” bwatyo bwagambye nalabula president Museveni okubeera omwegendereza

Ategezezza nti kuno kunaaba kumma banna-Uganda eddembe okwekyusiza obukulembeze mu mirembe kitaawe kyafudde ayagalaiza egwanga era kyeyalwanirira.

Wano avumiridde enguzi mu gavumenti nayambalira nebannadiini, bagambye nti befuula abatukirivu songa tebogera mazima ku mbeera eriwo mu gwanga.

Omugenzi Boniface Byanyima agalamiziddwa mu nnyumba ye eyoluberera akawungeezi ka leero, wakati mu namungi womuntu okuva mu buli kanyomero, okubadde bannadiini, bannabyabufuzi abenganda nabemikwano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *