Amawulire

NRM eyise abagala okuvuganya kukyamyuka Sipiika

NRM eyise abagala okuvuganya kukyamyuka Sipiika

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi akodde ababaka ba NRM, abagala okuvuganya ku kifo kyamyuka sipiika okulaga obwagazi.

Kino kyadiridde olukiiko lwekibiina olwa waggulu olwa CEC, okusemba abadde amyuka Sipiika Anita Among, avuganye ku kifo ekya waggulu ekyamyuka Sipiika.

Okulonda kubindabinda okuberawo olunnaku lwenkya, wabula CEC yawabudde nti okujuza ekifo kyamyuka Sipiika kikolebwe oluvnyuma.

Mu bbaluwa gyawandikidde Nampala wa NRM Thomas Tayebwa, nga ye Dr Tanga amulagidde akunge bannakibiina okulaga obwagazi mu buwandiike ku kifo kyamyuka sipiika.

Wabula Nampala wa gavumenti Thomas Tayebwa kizuuse nga yoomu ku bayinza okuvuganya era ku kifo kino nabalala okuli amyuka Ssabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi.