Amawulire

Nnamukadde ow’emyaka 80 alajana

Nnamukadde ow’emyaka 80 alajana

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Namukadde ow’emyaka 80 alajanidde ab’obuyinza, bamuyambe ku bantu abaamusaayidde emmere, era agamba nti bagala na kumutta.

Nnamwandu w’omugenzi Wejule Muwereza, Nabwire Mariam ow’emyaka 80 alumiriza Musoke Henry nabegandaze okumusindikiriza okuva ku kibanja ekiweza yiika 1 n’ekitundu wali ku kyalo Masujju mu gomboloola ye Mpunge mu district ye Mukono.

Namukadde ono agamba nti bazze ne batema olusuku lwe lwonna.

Wabula omumyuka womubaka wa gavumenti atuula e mukono Richard Bwabye agambye nti bayingidde mu nsonga zino.