Amawulire

NMG yezizza obugya ku mutimbagano

NMG yezizza obugya ku mutimbagano

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2021

No comments

Bya Musasi Wffe

Omukutu gwamawulire Nation Media Group-Uganda, okutandika nenkya bagenda kwanjula ekibanja ekibanja kyabwe oba website eyaziddwa obugya Daily Monitor wansi wa NMG mu ntekateeka y’okufuula omukutu gwamuwlire guno ogwa digito.

Website eno egenda kujja butereevu live, ku ssaawa 6 ezekiro era ejja kuberako amwulire nebisanyusa eri abasomi okuva neku bibanja ebiralala okuli podcast, radio livestream nebirala.

Bwabade ayogerako naffe mu bubaka bwe, obukulembeddemu okutongoza ekibanja ekippya ssenkulu wa NMG-Uganda Tony Glencross, agambye nti buno buwereeza obulongosedddwamu nga igenda kubeera kyangu eri abasomi, abawuliriza nabalabi okumanya.

NMG ye nnayini Daily Monitor, NTV, Spark Tv, Kfm, Dembe fm, olupapula lwa East African ne Nation Courier.

Ekibanja oba website ya Daily Monitor erina abantu obukadde 5 abagendayo okusoma buli mwezi.

Okusinziira ku Emanuel Waiswa, akulira ebya digito mu NMG Uganda mu nkola empya obuwereeza bwalongosedwa eri ba kasitoma baffe okufuna nokumanya byonna byebetaaga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *