Amawulire

NIRA ekuutidde abazadde okuwandiisa obuzaale bwábaana babwe

NIRA ekuutidde abazadde okuwandiisa obuzaale bwábaana babwe

Ivan Ssenabulya

August 9th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa banauganda ekya National Identification Registration Authority kisabye abazadde okufaayo okuwandiisa obuzaale bwabaana babwe.

Omulanga guno gugidde mu kaseera akokukuza olunaku lwa Africa olwokuwandiisa abantu olumanyiddwa nga African Civil Registration and Vital Statistics Day olukuzibwa buli nga 10th August.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala, akulira ekitongole kino Rosemary Kisembo, agambye nti okuwandiisa abaana kimu kuddembe lyobuntu era nga kiyambako gavt okukola entekateeka ennungi eri abantu baayo

Ono atangaziza nti okuwandiisa obuzaale bwábaana kyabwerere násaba abazadde obutabibbwa mpozi okukakasa obuzaale bwomwana kitwala 5000 zokka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *