Amawulire

Nigeria etulugunya abasibe

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

Nigeria tortures

Okutulugunya abasibe kifuuse kya bulijjo mu poliisi ye Nigeria .

Ab’ekibiina ekya Amnesty international bagamba nti abapoliisi n’amaggye bakozesa enkola ezitali zimu okutulugunya abasibe omuli okukuba, okutungulamu abasibe enjala n’okubakuula amannyo nga bakozesa magalo n’okubakabasanya mu by’akaboozi.

Omu ku bakazi abagambibwa okubba mu kibuga Lagos  agamba nti bamukabasanya mu mukwano n’okumukuba ttiyagaasi mu mbugo.

Gavumenti ya Nigeria tennabaako na ky’ennyega ku nsonga zino.