Amawulire

NEMA eyagala kwongerwa nsimbi ezigenda mu kukuuka obutonde

NEMA eyagala kwongerwa nsimbi ezigenda mu kukuuka obutonde

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe, 

Ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde ki NEMA kilaze obwetaavu okwongera ensimbi mu kukuuma obutonde bwensi

Bwabadde ayogerera mu lukungana lwa palamenti olukwata ku butonde mu Kampala, akulira NEMA Dr Akankwasa Barirega ategezeza nti nókutuusa kati ensimbi ebitundu 59.2 % ku mbalirira yóbutonde ziwa bweru ekibakalubirira mu nkola ye mirimu gyabwe.

Ono agambye nti mu mwaka gwebyensimbi oguwedde baweebwa obuwumbi bwensimbi 345 kyokka nga kuzino 250bn zaali zakola ku bibamba.

Dr Akankwasa agambye nti kyetaagisa ensimbi ezimala okusobola okukola byebatekeddwa okukola okukuuma obutonde.