Amawulire

Naluyima aleese ekiteeso ku musolo oguva mu bitundu

Naluyima aleese ekiteeso ku musolo oguva mu bitundu

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye ne Moses Ndhaye

Ababaka ba palamenti awatabadde kwesalamu bawagidde ekiteeso ekireteddwa, ekigenda okukubaganyizbwako ebirowoozo, gavumenti okujulula entekateeka, yazi gavumenti ezebitundu okukunganya omusolo nebaguwereza mu gwanika lyegwanga nga tebanagukozesa.

Ekiteeos kino kyanjuddwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Wakiso Betty Ethel Naluyima nga kiwagiddwa omubaka we Aruu North Santa Okot.

Kati ababaka okubadde Ojara Mapenduzi, Bob Okae, Dickson Kateshumbwa bagambye nti abazi gavumenti ezebitundu okubajjako ssene ezo kikozessa nnyo emirimu nobuwereza mu bitundu.

Ate abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso basabye abavubuka nti bewale, okukiriza okukozesebwa mu bikolwa ebikyamu era ebimenya amateeka.

Omubaka omukyala Betty Ethel Naluyima awabudde abavubuka nti betabe mu mirimu egyenkulakulana.