Amawulire

Nadduli ayambalidde Mubajje olw’okwagala okukyusa Ssemateeka

Nadduli ayambalidde Mubajje olw’okwagala okukyusa Ssemateeka

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Ssentebbe ow’olukiiko olwa waggulu oluddukanya obusiraamu, olwa Uganda Muslim Supreme Council, Hajj Abdul Nadduli ayambalidde Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje amulumiriza okwekobaana n’olukiiko olwa General Assembly okutigatiga ssemateeka.

Hajj Nadduli agambye nti wewaawo wabaddewo obwetaavu okukyusa mu Ssemateeka, babadde batekeddwa ensonga okusooka okuzanjula eri General Assembly nebakikakasa

Ennyingo eya 23 mu ssemateeka waabwe yawa Assembly obuyinza obusooka okukakasana ebiteeso.

Wabula okusinziira ku banaffe aba Daily Monitor, tukitegeddeko nti Assembly yasemba okutuula mu February w’omwaka oguwedde.

Nadduli anenya ekyokuba nti entekateeka zokulongoosa mu Ssemateeka zigenda mu maaso nokutesebwako mu bitundu ebyenjawulo, awataali kukireeta mu Assembly.

Amateeka era gagamba nti baalina okwebuuza ku lukiiko lwamateeka oluwabuzi, Nadduli lwakubiriza era okutuula ne bannamateeka absiraamu, wabula ekitakolebwa.

Wabula omuwandiisi wa UMSC, Hajj Ramadhan Mugalu awolerezza entekateeka egenda mu maaso okwebuuza ku nnongosereza mu Ssemateeka.

Agambye nti entekateeka eno yakakasibwa mu General Assembly eyatuula mu mwaka gwa 2015.