Amawulire

Nadduli ayagala kwetuukira wa pulezidenti

Ali Mivule

September 19th, 2016

No comments

nadduli

Minisita atalina mulimu gwankalakalira Al-Hajji Abdul Nadduli ategezezza nga bw’ayagala okutuukirira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awatali kuyita mu muntu yenna.

 

Nadduli agamba abmu ku bantu pulezidenti beyesiga okumutuusako obubaka tebabutuusa olw’ebigendererwa byabwe eby’okweyagaliza bokka kale nga kati naye ayagala yetuukire awatali kusindika mabaluwa kuyita mu muntu yenna.
Nadduli alumiriza nti olumu pulezidenti Museveni yamuweereza obukadde 240 wabula bebabuwa okubutuusa baabwekomya.

 

Nadduli agamba abantu nga bano bebalemesezza enkola ya bonna bagaggawale olw’okwekomya ensimbi zino.