Amawulire

Mwekube mu mutima mu kisiibo kino

Ali Mivule

July 11th, 2013

No comments

muslims

Banabyabuzi bakubiriziddwa okukozesa omweezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan  okwekubamu toochi ku bikolwa byaabwe neneyisa yaabwe eri abantu bebakulemberamu.

 

Lord mayor wa kampala ssalongo Erias Lukwago agamba kano kekaseera abantu okwekuba mu kifuba balongoose ensobi zaabwe nokwenkanyankanya mu bantu bagateko nokwenenya.

Lukwago agamba nga obuli bwenguzi bufuuse baana baliwo muggwanga, namayiosa amalala agafumbekedde mu banabyabufuzi, eno ye saawa okubikomya batandike esuula empya mubulamu bwaabwe obwebyobufuzi.

 

Ono era akubirizza abayisiramu bonna gyebali okusabira eggwanga livuunuke emize nga obuli bwenguzi, saako nokutuntuza aboludda oluvuganya gavt.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *