Amawulire

Muzzukulu wa Chwa atutte Kabaka mu kooti

Muzzukulu wa Chwa atutte Kabaka mu kooti

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Muzzukulu wa Ssekabaka Sir Daudi Chwa atutte Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II mu kooti, ngamulumiriza okutwala ettaka lyabwe, ngagamba nti kitundu ku ttaka lya mailo ya Buganda.

Kabaka bamuwawabidde nekitongole kya KCCA, kamisona avunayizbwa ku kuwandiisa ebyapa Joseph Ssempebwa, omulangira Kassim Kakungulu Nakibinge, Ferikitansi Keziya Nabisenke n’omulangira Namukabya Nfamba.

Omubejja Edith Mpologoma agamba nti ettaka eryogerwako liweza squaremile 18, nga lisangibwa Munyonyo eranga lyali lya Ssekabaka Sir Daudi Chwa, nga lilye ngomuntu.

Ono agamba nti muwala womulangira George William Mawanda Chwa, eyali mutabani wa Ssekabaka Chwa.

Omumbejja Mologoma yayise mu banamateeka be aba Guma & Co. Advocates, ng’ayagala kooti ekirangire nti ettaka eryo balitwala mu bukyamu.