Amawulire

Mutabaazi ayambalidde ssentebbe munne
Bya Barbra Nalweyiso
Sentebe wa district ye Lwengo, George Mutabaazi aterede mukulembeze munne Akaka, ssentebe wa district y’emityana Joseph Luzige, nga amulanga butakulakulanya bantu be.
Mutabaazi agambye, nti ye talabagankako nsiko nga gyeyasanze e Mityana.
Ono abadde Mityana, wabula agambye nti, Luzige alunda misota.
Wabula, sentebe wa district eno Joseph Luzige, ategezezza, nga munywanyi we Geoge Mutabaazi alina ekizibu, kuba ayogera nga tamaze kwekenenya nsonga.