Amawulire

Museveni wakwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero

Museveni wakwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa

Omukulembeze weggwanga YK Museveni wakwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero.

Okusinzira ku munnamawulire wa Museveni Lindah Nabusayi, wakwogera kunsonga ezebyokwerinda

Okwogerako kugidde mu kaseera nga wakayita omwezi gumu gwokka bukya gavt etongoza kawefube owokugyako abakaramoja emmundu ne kigendererwa ekyokutebenkeza emirembe mu kitundu.

Era okwogerakwe kugidde mu kaseera nga okulwanagana kuzeemu buto okubalukawo mu ggwanga eryokumuliraano erya south Sudan newankubadde baali bakola endagano eyokuza emirembe mu mwaka gwa 2018, kino nno kiteeka ebyokwerinda bye ggwanga lino mu matiga.

Museveni era asuubirwa okwogera kunsonga ezikwata ku ttaka lya mailo eryogeza bannauganda mu kitundu ekya masekati ebisongovu.

Ono asuubirwa nokwogera ku kukwatibwa kwa Kanyumiza ku social media Lumbuye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *