Amawulire

Museveni wakutongoza ekifo ekigenda okusimwamu Amafuta

Museveni wakutongoza ekifo ekigenda okusimwamu Amafuta

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minister wa’amafuta n’obugagga obw’ensibo Ruth Nankabirwa akakasizza nga President Museveni bwagenda okutongoza ekifo ekimu ku bifo ebigenda okusimwamu amafuta ekya Kingfisher n’ekigendererwa eky’ekifo kino okutandika okusima okuva mu ttaka.

Omukolo guno gwakubeerawo nga 24 January 2023.

Ng’ayogerako eri bannamawulire ku kisawe ky’amafuta wekituuse,Nankabirwa ategezezza nga kampuni y’aba China ekola omulimu guno bwemaliriza buli kimu nga n’aba CNOOC bamalirizza okukola okwekebejja kwonna okwetaagisa.

Ekiof kino kigenda kubeeramu enzizi 33 nga kisangibwa mu district y’e Hoima ne Kikuube nga kwekuli n’olusinga okubeera oluwanvu nga luwerako kilomita 7

Okusinziira ku Nankabirwa, ebyuma ebigenda okukozesebwa byateekebwa mu kifo kino mu mweezi gw’e 11 omwaka oguwedde.