Amawulire

Museveni wakusiima abantu 81 ku lunaku lwa bazira

Museveni wakusiima abantu 81 ku lunaku lwa bazira

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni akkiriza okusiima abantu 81 baweebwe emidaali ku lunaku lwa bazira.

Kino kiri mutteeka erya national honor and awards Act eriwa obuyinza pulezidenti okuwa emidaali abantu abenjawulo abakoze mu nkulakulana ye nsi yabwe.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumizbwa minisita omubeezi alondoola ebyenfuna, Peter Ogwang, abantu 34 bakuweebwa emidaali egya golden jubilee medal, 17 gya Nalubaale, 18 gya Luweero triangle, 2 gyabaweereza eggwanga ebbanga eddene mu poliisi ne nábantu abalala 2 bakuna gya bitiibwa.

Mu bagenda okuweebwa emidaali kuliko omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga.

Mu balala kuliko Joel Kakira eyawa gavt ettaka kwebazimba eddwaliro erya Mabere health center 111 mu Sheema district.

Omulala ye Tom O’lalobo, ngóno yaliko omuvuzi wenyonyi

Emikolo gyakubeera ku kisaawe e Kololo June 9th, 2022 wansi wómulamwa ogugamba nti tulina omukisa okunyweza ebirubirirwa byabwe ku lwa Uganda.