Amawulire

Museveni takyalina bubonero bwa kirwadde kya Covid-19

Museveni takyalina bubonero bwa kirwadde kya Covid-19

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

PULEZIDENTI Museveni ategezeza nga obubonero obubadde bulaga ekirwadde kya Covid19 ekyamuzingako bwe bugenze.

Mu kiwandiiko kyeyafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter akawungeezi akayise, pulezidenti yategeezezza nti teyandigenze mu kweyawula singa ebyava mu musaayi ku Ssande byali bisanyusa.

Omukulembeze w’eggwanga agumizza Bannayuganda nti kati ali bulungi era nga tali mumbeera mbi nga bangi bwebabadde balumiriza era nga yasigala akola emirimu gye mu kimpowooze.

Mungeri yeemu yeebazizza bannansi abawaddeyo obudde okumwagaliza okuwona amangu.

Amawulire galaga nti pulezidenti asuubirwa okudamu okukeberebwa covid omulundi omulala  olunaku lwenkya.

Kati ebinavaayo byebigenda okusalawo oba anabaawo ku mukolo ogwokusoma embalirira ye ggwanga ku Lwokuna.