Amawulire

Museveni ayongedde okuvumirira obutujju

Museveni ayongedde okuvumirira obutujju

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni ayongedde okuvumirira ekikolwa kyobutujju, bbomu bweyabwatuddwa ku bbaala eya Digida Pork Joint.

Mu kiwandiiko ekyokubiri, Museveni kyafulumizza agambye nti abaakikoze mbizzi mu lunyanyimbe kyayise “parasite pigs”.

Kati agambye nti newankubadde ababadde mu baala babadde bamenya mateeka ku budde obwa kafyu, naye obutemu obwabakoleddwako bwetaaga okuvumirirwa.

Kati agambye nti abatemu bano tebalina kifo wa kwekeeka, baakukwatibwa nga abaali batta abantu e Masaka bwebakwatibwa eranga naba ADF 15 bwebakwatibwa baali bagala okubwatula bbomu mu kuziika eyai amyuka Ssabapoliisi wegwanga Maj Gen Paul Lokech.

Museveni, yeyise Ssabalwanyi we Luwero mu kiwandiiko kino, wabula asabye abantu okusigala nga bakakamu.

Poliisi yategezezza ngobulumbaganyi buno bwebwabadde obutujju obwomunda mu gwanga, kubanga abajambula baakozesa bintu bya wano okukolerera bbomu eno.