Amawulire

Museveni ayogedde ku bbomu eyakubiddwa e Komamboga

Museveni ayogedde ku bbomu eyakubiddwa e Komamboga

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni asabye bannaYugnda, okusigala nga bakakamu, oluvanyuma lwa bbomu eyakubiddwa ku kiso ekisanyukirwamu ekya Digida Pork Joint e Komamboga, mu Kwata zone e Kampala.

Pulezidenti Museveni obubaka bwe, abuyisizza ku tweeter, nagamba nti baamunyonyodde nga bwebyabadde, ngomuntu omu yeyafudde abalala 5 nebalumizibwa.

Buno agambye nti bubadde bulumbaganyi bwabanalukalala, naye akakasizza nti baakukwatibwa bavunanibwe.

Agambye nti okunonyereza kulaga nti waliwo abantu 3 abazze mu kiriiro kino, naye nebalakawo ebintu ebisabikiddwa mu Kaveera, byebyabwatuse oluvanyuma.

Museveni agambye nti abakugu okuva mu poliisi batandise okunonyereza, baakunyonyola ebisngawo eri egwanga era bawabule nengeri yokwongera okwerinda.

Neku mulundi guno, abakoze kino abayise mpizzi wabula agambye nti bajja kubawangula.

Bino webijidde nga Bungere, nga 14 Okitobba baalabula Uganda ku bikolwa byobutujju.

Uganda yali yasemba okukubwa mungeri bweti nga 11 July mu mwaka gwa 2010 aba Al-Shabab, bwebatta abantu 75 mu bbomu ezomudiringanwa bbiri mu bifo ebyenjawulo mu Kampala.

Bino byaliwo ku finolo za World Cup mu mwaka ogwo.