Amawulire

Museveni ayise akabondo k’ekibiina kya NRM olwaleero

Museveni ayise akabondo k’ekibiina kya NRM olwaleero

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Omukulembeze wegwanga, nga ye ssentebbe wekibiina kya NRM ayise akabondo kababaka bekibiina, katuule olwaleero.

Ensisinkano eno egenda kutuula ku kisaawe e Kololo, wabulanga ebigenda okutesebwako tebinamanyika.

Omuwandiisi wakabondo kababaka ba NRM, omubaka Lilian Aber agambye nti omukulembeze wegwanga agenda kwogera gyebali ku nsonga zezenjawulo.

Wabula bwabuziddwa obanga, ekyokujjawo akakalu k akooti ku banatu abavunanibwa emisango eminene kigenda kutesebwako, agambye nti ensonga nnyingi zabayitidde era wakuzanjula.

Kinajjukirwa nti olunnaku lweggulo, wabaddewo okukontana ku nsonga eno wakati womukulembeze wegwanga ne Ssabalamuzi nga yategezezza ng’okugaba bail bwekiri mu ssemateeka wegwanga era ddembe lyabwebange.