Amawulire

Museveni awadde bannaYuganda e Dubai obukadde 533

Museveni awadde bannaYuganda e Dubai obukadde 533

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni akubye bannaYuganda abawangalira mu United Arab Emirates (UAE), enkata ya bukadde 533.

Ensimbi zino yazibawadde ngobuyambi, bweyabadde asisinkanye abakulembeze baabwe mu kibiina kya Association of Ugandans living in the United Arab Emirates (AUU).

Agambye nti zigenda kutekebwa mu SACCO yaabwe, mungeri yokubalaowozaako balame kulowooza nti tebafiriddwako oba nti gavumenti yabasulawo ttayo.

Agambye nti batekeddwa okwewaola ssente zino ku magoba aga wansi, wabula abalabudde nti bazikozese mu mirimu eginazaala ssente endala.

Kulwa gavumenti, Museveni yeyamye nti bagenda kuzimba ekifo abaana abaobuwala abatulugunyizddwa okuva e Buwarabu webanabakuira nokubabudabuda.

Agambye nti mu kifo kino era bagenda kwongera okunyweza amateeka ku ntambula yabantu abafuluma egwanga, okulwanyisa ekikukusa bantu.