Amawulire

Museveni awadde abenganda zábantu abattibwa e Masaka 10M

Museveni awadde abenganda zábantu abattibwa e Masaka 10M

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omukulembeze weggwanga awadeyo obukadde bwensimbi 10 eri amaka 25 abafiirwa bantu babwe mu butemu bwebijjambiya obubadde mu bitundu byobwagagavu bwe Masaka

Museveni abadde munsisinkano nábenganda za bagenzi mu makage Entebbe nágamba nti gavt yakuluma nogwengulu okulaba nti abali emabega wettemu lino bagombwamu obwala.

Ono agambye nti balina bebakakwata kuba baleka omukululo emabega ekyayamba abebyokwerinda okubalondoola.

Gye buvudeko abatemu be bijjambiya baasatiza abatuuze mu disitulikiti okuli Masaka, Lwengo, Bukomansimbi ne Rakai nga muno mufiiridemu abantu abakunukiriza mwa30

Abebyokwerinda bakyagenda mu maaso nokunonyereza ekigendererwa kya batemu ekituufu.