Amawulire

Museveni awabudde ku kukola obuggaga

Museveni awabudde ku kukola obuggaga

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze weggwanga yoweri Museveni awadde bannauganda kungeri yokukolamu sente.

Bino Museveni abyogeredde wakiso ku mattikira ga bayizi abasoba mu 30,000 ababangulibwa mu byemikono mu ntekateeka ya seninde foundation.

Museveni agamba nti bannauganda bwebaba bakufuna ensimbi basanye benyigire mu by’obulimi, mu byempereza, mu makolero ne bya technologia.

Ono agamba nti abantu abali mwe byo bafunye nyo sente kale nga nabalala basanye okuby’enyigiramu.

Ono asabye ne minisita we by’enjigiriza ebisokerwako okumuwa embalirira okumanya ebyalaani bimeka ne bikozesebwa mu saluuni abattikiddwa bebetaaga asobole okubawa entandikwa.