Amawulire
Museveni avumiridde ettemu
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni avumiridde ettemu ku bantu baulijjo, abatalina wadde ekyokulwanyisa.
Agambye nti kino kibeera kikolwa kyabutitizi na bunafu.
Bino abyogeredde ku mikolo gyolunnaku lweyali Ssabalabirizi Janani Luwum olwomulundi ogwa 44.
Agambye nti kyali kikyamu pulezidenti Idi Amin okutta abantu abaali batakiriza mu bukulembeze bwe.
Kati Museveni agambye nti tewali nsonga lwaki otya abavumirirra byokola.
Wabula ajjukizza banadiini okwewalanga kyekubiira, wakati mu kuwabula gavumenti kwebakola.
Agambye nti waliwo abamu abolesa kykubiira owa ddala.