Amawulire

Museveni avumiridde abavuganya okwekandaga ne bafuluma palamenti

Museveni avumiridde abavuganya okwekandaga ne bafuluma palamenti

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga YK Museveni avumiridde ekya babaka abali ku ludda oluvuganya okwekandaga ne bafuluma palamenti ku byokukwatibwa kwa banabwe.

Ku lwokusatu lwa ssabiiti eno ababaka aboludda oluvuganya nga bakulembedwamu omukulembeze wabwe Mathius Mpuuga, batambula ne bava mu sseteserezo nga bawakanya engeri babaka banabwe Allan Ssewanyana ne Mohamed Ssegirinya gyebakwatibwamu wadde nga kkooti yali ebayimbudde mu kkomera.

wabula pulezidenti agamba nti mu kifo kyababaka bano okwekandaga ne bafuluma palamenti balibadde basaba wabeewo okunonyereza ku byogerwa ku babaka banabwe okuzuula oba bituufu kuba nabo tebali wagulu wa mateeka

Wano weyasinzidde era nadamu okusaba ekitongole ekiramuzi okulowooza kukyokugyawo ekyokuta abasibe abali ku misango egyannagomola ne poliisi okukoma okuyimbula abateberezebwa okuba abazzi bemisango

Museveni yakakasiza eggwanga nti obumenyi bwa mateeka bwonna bwakulinyibwa kunfete mu ggwanga lino.