Amawulire

Museveni atadde omukono kutteeka erikugira okussaddaaka abantu

Museveni atadde omukono kutteeka erikugira okussaddaaka abantu

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulemebeze weggwanga YK Museveni atadde omukono kutteeka erikugira okwenyigira mu bikolwa ebyokussaddaaka abantu mu ggwanga lino erimanyiddwa nga prevention and prohibition of Human Sacrifice Act 2021.

Mu tteeka lino omuntu asingisibwa ogwókussaddaaka oba okuyambako mu kikolwa kino, awanikibwa ku kalabba oba okusibwa amayisa.

Omubaka wa Ayivu County, Bernard Atiku eyaleeta ebbago lye tteeka lino anyonyodde nti omukulembeze weggwanga amaze okuteeka omukono ku tteeka lino era nalabula bannauganda okwewala ebikolwa ebyokussaddaaka abantu okwewala okukangavulwe mu tteeka lino

Etteeka era lyakukangavula omuntu atadde ensimbi mu kikolwa ekyokussaddaaka omuntu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *