Amawulire

Museveni asomozeza baminisitabe

Museveni asomozeza baminisitabe

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze weggwanga Museveni asomozeza baminisitabe okwewala okweyambisa bakayungirizi mu kugula ebintu bya gavt.

Okwogera bino abadde ku kisaawe e Kololo, ng’awaayo emotoka ezekika kya pikaapu 280 ezagulibwa gavt kunsimbi za bagabi bobuyambi mu kulwanyisa ekirwadde kya covid-19

Museveni agambye nti yalemerako okulaba nti emotoka zino zigulibwa mu batunzi baaazo mu kifo kyokukozesa bakayungirizi abaddumuula emiwendo.

Yebaziza akakiiko ke ggwanga akalwanyisa ekirwadde kya covid olwokukola enyo songa tebasasulwa wabula nalabula ba CAO kukyokukozesa emotoka zino obubi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *