Amawulire

Museveni alinyisiza Omugenzi Maj Gen Loketch eddaala

Museveni alinyisiza Omugenzi Maj Gen Loketch eddaala

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omukulembeze wéggwanga YK Museveni era nga ye ssabaddumizi owókuntiko oweggye lye ggwanga erya UPDF alinyisiza eddaala lyómugenzi abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Lokech okudda ku Lt Gen.

Bino byogeddwa minisita owensonga ezomunda mu ggwanga Gen Kahinda Otafiire mu kuziika omugenzi Lokech mu disitulikiti eyé Pader.

Omukulembeze weggwanga mu bubakabwe obumusomeddwa minisita Otafiire, agambye nti Omugenzi asazeewo okumulinyiza eddaala olwemirimu emirungi gyalese akoledde eggwanga ne Africa mu byobutebenkevu.

Era amutendereza olwokwolesa obukugu namagezi mu mirimu gye.

Museveni era yeyamye okusigala nga alabirira famile yómugenzi.

Amaziika ga Loketch getabiddwako ne yaliko omukulembeze weggwnaga erya Somalia Sharif Sheikh Ahmed.

Lt Gen Lokech yassa ogwenkomerero ku lwomukaaga lwa ssabiiti eyise oluvanyuma lwomusaayi okwetuga mu mawugwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *