Amawulire

Museveni alemezzaawo kafyu

Museveni alemezzaawo kafyu

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni tanalaga bwetaavu bwokujjawo kafyu, owessaawa 1 akwungeezi ne 11 nekitundu ngobudde bukya.

Abamu ku bantu be Msaka, babadde basaba nti kafyu ajibwewo okusoboka okwerwanako mu budde bwekiro ssinga bakolebwako obulumbaganyi.

Wabula pulezidenti Museveni agambye nti kafyu yatekebwawo okutangira okusasaana kwobulwadde bwa ssenyiga omukabwe, naye tekirobera bantu kwerwanako mu mbeera.

Bino yabyogedde bweyabadde asisinkanye ennyumba 25 okuva e Masaka ne Lwengo, abatiddwa abantu baabwe mu butemu bwebijambiya.

Abantu abali mu 30 bebatiddwa mu bitundu bino mu bbanga eryomwezi.

Bweyabadde ayogera kulwa banne Mary Nkwanzi era yagambye nti okuggala amsomero nakyo kirabika kyekuusa ku butemu buno, kubanga abavubuka bangi abononese era abatalina kyebakola.

Ebirala basabye nti gavumenti ebatusize amasanyalaze kubanga, ensikiza nayo eseesa mu bumenyi bwmaateeka.