Amawulire

Museveni alagidde abasirikale abaali ku kamera babagobe

Museveni alagidde abasirikale abaali ku kamera babagobe

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alagidde nti abasirikale abaali ku Camera e Natete, Maria Nagirinya n’omudereva Ronald Kitayimbwa lwebawambibwa nti babagobe mbagirawo.

Agambye nti bano balagajjalira emirimu gyabwe, mu kifo kyoklondoolanga ebigenda mu maaso ate bakola gwakujjayo bifananyi ebyebyo ebyabaddewo.

Agamba nti bandibadde balondoola ebigenda mu maaso, okusobola okulawuna ebitundu nokuzizyiza obumu ku bumenyi bwmaateeka okubaawo.

Kigambibwa nti abagenzi nga bakawambibwa, abenganda bakubira poliisi ku 999, wabula nga tewali akwata ssimu.

Museveni ategezezza ngabasirikale bano bonna bwebamaze okukwatibwa era alagidde nti babagobe okuva mu poliisi amangu ddala.

Ate ku butemu obwakolebwa ku Joshua Rushegyera ne Merina Tumukunde ku luguudo lwa Entebbe expressway, Museveni agambye nti era kiraga obulagajjavu nobunafua bwa poliisi.

Ategezezza ngabamenyi bamateeka bwebaleka emabega obubinero obuyinza, okuyamba okubakwata naye tebakozesa mukisa guno, byonna nebyanika obunafu bwa poliisi.