Amawulire

Museveni alabudde aba UNATU

Museveni alabudde aba UNATU

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Omukulembeze weggwanga Museveni asabye ekibiina omwegatira abasomesa obuteekiika mu ntekateeka ya gavt eyókuwa abasomesa basayansi omusaala oguwera.

Bino abyogeredde ku mukolo ogwokukuza olunaku lwa basomesa olwensi yonna ogubadde ku kisaawe e Kololo.

Pulezidenti okuvaayo bwati kidiridde ssabawandiisi we kibiina omwegatira abasomesa ekya Uganda National Teachers Union Filbert Baguma, okusaba pulezidenti agyewo okusosola mu basomesa nga abasayansi baweebwa omusaala omunene ate aba-Arts ne basigala nga bafuna gwa muswaaba.

Wabula Museveni asabye abakulembeze mu kibiina kya UNATU okukomya okupeeka gavt kukyokubongeza omusaala.

Gavt kuntandikwa yomwaka guno yayongeza omusaala gwa basomesa abasayansi okutuuka ku bukadde 4 buli mwezi, aba arts bbo tebabongera, Baguma kyagamba nti kileetawo engeri yobusosoze nokumalamu amaanyi banabwe aba-arts.

Ono ayagala abasomesa bonna baweebwe omusalaa ogufanagana awatali kusosola.