Amawulire

Museveni akubiriza bannauganda okwekuuma okuba abalamu

Museveni akubiriza bannauganda okwekuuma okuba abalamu

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Omuk weggwanga YK Museveni akubiriza bannauganda okwekuuma nga balamu bulungi.

Bino abyogedde ayogerako eri abakungubazi ku mukolo ogwokusabira omwoyo gwomugenzi Jacob Oulanya e Kololo

M7 agambye nti obulamu bwe bugagga ate kye kyokulwanyisa mu lutalo lwensi eno.

Ono ategezeza nti omuntu bwafa ngobudde bwe tebunatuuka kiba kyakusaasirwa kinene eri eggwanga kale nga bannauganda basanye okwefaako ku byobulamu bwabwe.

Museveni ategezeza nti Oulanyah yadde nga yali wampisa, yalagajalira obulamubwe nabuteekanyo mu bu byobufuzi.