Amawulire

Museveni akomezaawo Kulaigye okwogerera amagye

Museveni akomezaawo Kulaigye okwogerera amagye

Ivan Ssenabulya

February 4th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni alonze Brig Gen Felix Kulayigye okwogerera amagye g’egwanga aga UPDF ngadda mu bigere bya Brig Gen Flavia Byekwaso.

Kino kikakasiddwa akolanga omwogezi wa UPDF Lt col Ronald Kakurungu mu kiwandiiko kyafulumizza.

Ku ntandikwa yomwezi guno Brig Gen Byekwaso yawaayo wofiisi eri Kakurungu bweyatumibwa okuddayo okusoma ku ttendekero lyamagye erya National Defense College.

Wabula Kulayigye ssi mupya mu wofiisi eno, nga yayogererako amagye wakati wa 2005 ne 2013.

Bino byebitonotono ebimukwatako, yegatta ku magye gegwanga mu 1989, bweyali yakamala okusoma degree ye esooka.

Kulayigye yabadde akulira ebyobukulembeze oba Political Commissar mu UPDF, okuva mu 2016 abadde mubaka akirira UPDF mu palamenti eyomulundi ogwe 10 okutukira ddala mu 2021.

Mu February wa 2019, baamukuza okuva ku daala lya Col okudda ku ddaala lya Brig.