Amawulire

Museveni akkiriza abakozi okuweebwa ekitundu kunsimbi zabwe eza NSSF

Museveni akkiriza abakozi okuweebwa ekitundu kunsimbi zabwe eza NSSF

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abakozi basiimye omukulembeze YK Museveni weggwanga okuwulira omulanga gwabwe ku bikwata kunsimbi zabwe eziri mu kitavu kya bakozi.

Kino kidiridde Omukulembeze weggwanga okukkiriza abakozi abatereka ne kitongole kya NSSF abagwanidde okufuna ekitundu ku nsimbi zabwe batandike okuzifuna.

Mu nnongosereza ezakolebwa palamenti omukozi awezeza emyaka 45 nga abadde atereka ne NSSF okumala ebbanga lya myaka 10 wakuwebwa ebitundu 20% kunsimbi nsimbi zaterese.

Museveni okukola okusalawo kuno kyadiridde ensisinkano gyeyabaddemu nábakikirira abakozi, minisita owebyensimbi Matia Kasaija nákulira ekitongole kya NSSF Richard Byarugaba olunaku lweggulo.

Bweyabadde yegerageranya ku musajja owebyafaayo Pontius Pilate, eyakulira okuwulira omusango ogwatekebwa ku Yesu Kristu mu kitabo ekitukuvu ekya bayibuli, Museveni yagambye nti olwa maloboozi ga bakozi abamupeeka okuteeka omukono ku nnongosereza ezakolebwa mu tteeka lya bakozi, akkiriza enkyukayuka zino ebisigadde bilirabika mu maaso eyo ngébyókuyigirako.

Era yalagidde minisita owekikula kyábantu nábakozi Betty Amongi, akole ennongoserza mu bbago lye tteeka lino nóluvanyuma lidde gyali ayiweko omukono.

Kati sentebe wékibiina omwegatira abakozi mu ggwanga ekya National Organisation of Trade Unions Usher Wilson Owere, agambye nti pulezidenti alokodde abakozi era kukyakoze tebali mwelabira, neyebaza nábakozi olwokuba abaguminkiriza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *