Amawulire

Museveni akakasizza Okuggulawo egwanga mu January

Museveni akakasizza Okuggulawo egwanga mu January

Ivan Ssenabulya

October 29th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, azeemu okusubiza nti ebikolwa byekitujju bajja kubiwangula.

Ayogedde ku bulumbaganyi bwa bbomu, obwemirundi ebiri obukoleddwa ku gwanga mu nnamu entono eziyise, nagamba nti abali emabega webikolwa bino mpaawo webajja kutuuka.

Wabula asabye abantu babulijjo okubeera bulindaala, ku byonna byebekengedde ate baloope.

Wano era atenderezza abamu ku bavuganya gavumenti, nabo abegasse okuvumirira nokwesamba ebikolwa byokutabangula egwanga.

Bino byonna bibadde mu kwogera kwe eri egwanga, akawungeezi akayise.

Mu birala, omukulembeze wegwanga azeemu okukola obweyamu nti amasomero gaakuggulwalow mu January ku ntandikwa yomwaka ogujja 2022.

Agambye nti ku nkomerereo ya Decemba 2021, banaaba bagemye abantu obukadde 12 ku kirubirirrwa kyabwe, ekyokugema abantu obukadde 21 okusobola okuggulawo ebyenfuna.

Agambye nti egwanga lifunye eddagala erimala, okugemba abantu abawerako.

Wabula agambye nti wakyaliwo akaksoobo, abantu bataono abagemeddwa, abakuze emu myaka 50 nokudda waggulu.

Kati asabye abakulira amagombolola neku miruka, saako ba GISO okukakasa nti abantu abo, bagemebwa.

Agambye nti balina entekateeka abamu, okubasanga mu maka gaabwe babagemere eyo, kubanga tebayinza kutambula okwetwala mu bifo omugemerwa.