Amawulire

Museveni agugumbudde abasomesa
Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abasomesa abalemeredwa okukola emirimu gyabwe obulungi okulekulira.
Bino abyogeredde mu lukungaana lw’abasomesa mu Kampala n’agamba nti Uganda nga tenafuna bwetwaze yalina abasomesa abakolanga emirimu gyabwe n’okwewaayo n’abaana ne bayita bulungi songa tebaalina buyigirize bumala, wabula ab’omulembe guno ababanguddwa obulungi ate balemeredwa okusomesa abayizi
Museveni agambye nti abasomesa bomulundi guno beefuula abasomesa ate nga tebalina byebakola ne balowooza nti balumya gavumenti na bazadde, ono abasaasidde nabategeeza nti katonda abalaba.
Wano nno wabasabidde balekulire bwebaba bawulire nti okusomesa bakukooye.