Amawulire

Museveni abanja kunyonyolwa ku nfa ya Ssabasumba

Museveni abanja kunyonyolwa ku nfa ya Ssabasumba

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ayongedde okubanj, ebyokudibwamu ku nfa, yabadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga.

Bwabadde ayogerera mu kusaba okwenjawulo okwategekeddwa gavumenti ku kisaawe e Kololo, Museveni agambye nti okusinziira ku alaipoota eyawereddwa, ebyase Ssabasumba byabadde bisoboka okwewalika.

Dr Andrew Ssekitoleko, omusawo wessaza, eranga yabadde omusawo womugenzi yategezezza nti yafudde birwadde bya mutima.

Kino yagambye nti kyabaddewo oluvanyuma, lw’omusaayi gwe okutuyira

Kati abadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga bamukubidde emizinga 17.

Kino kikoleddwa mu kusaaba kwekumu.

Omukulembeze we gwanga agambye nti yalagidde Dr. Lwanga bamuwe okuziika okutongole kubanga abadde munadiini mugundiivu, omu kubalabairizi ba Kkerezia 5.

Museveni asiimye obuwagizi banadiini bwebamuwa, mu nsiko mu biseera byoolutalo bweyali ayekera gavumenti ya Obote.

Mungeri yeemu Bann-Uganda naddala abakristu basabiddwa okunywera mu Katonda, wakati mu kaseera akokusomozebwa kwebayitamu.

Bwabadde akulembeddemu okusaba kuno, ssentebbe ow’olukiiko lwab-Episcopal nga ye musumba we’ssaza lya Kiyinda Mityana Bishop Joseph Antony Zziwa agambye nti kyekiseera okukiriza nti Ssabasumba Dr. Lwanga yagenze.

Agambye nti era kyekiseera okutereza amakubo gaffe, mu Katonda.

Okuva eno omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa ku butaka ku kyalo Kyabakadde, geno wategekeddwayo okusaba.

Mu ntekateeka endala, era gwakutwlaibwa ku kiggwa kyabajulizi e Namugongo olunnku lwenkya, songa okukuba ku mugenzi eriiso evvanyuma kwa lunnaku lwankya, ku lutikko e Lubaga.