Amawulire

Munyikire okulima- Ssabasajja akunze abantu be

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

Ntenjeru 2

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri  akubirizza abantu be Bugerere okunyikira okulima enyo okusobola okwejja mu bwavu.

Bino Beene abyogedde alambula omusiri gw’emmwanyi wali mu gombolola ye Busaana gyali okulambula kati.

Luno lunaku lwakubiri nga ssabasajja alambula essaza lye erye Bugerere nga olwajjo namunji w’omuntu yamwanirizza mu ssaza lye lino erye Bugerere.

Mu ngeri yeemu Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Ssabasajja  okugenda nga mu malwaliro nga balina endwadde ezibabala embiriizi baleme kwesiba ku ddagala lya kinansi lyokka.

Ategezezza nga bwekiba ekirungi omuntu okusooka okukeberebwa kiki ddala ekimuluma nga tanaba kunywa ddagala.

Ate ebyo ng’obitadde ku mabbali,Poliisi ekutte ababadde basala abantu ensawo ku mikolo gy’okukyala kw’omutanda e Bugerere.

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti ate bbo abantu 13 beebakoseddwa mu bubenje bwa bodaboda obubadde e Kayunga.

Poliisi egamba nti obubenje buno buvudde ku ba bodaboda okuvugisa ekimama.