Amawulire

Munnamawulire e Masindi attibbwa

Munnamawulire e Masindi attibbwa

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2022

No comments

Bya Ismail Bategeka

Poliisi mu disitulikiti ye Masindi ebakanye nokunonyereza kungeri munnamwulire, ku Kings Broadcasting Services {Kings FM 93.6} gyatiddwamu amakya ga leero.

Omugenzi ye Gerald Aseera, ngabadde musomi wamawulire, wabula akubiddwa amasasi mu kiro ekikesezza olwaleero.

Kigambibwa nti omukuumi mu kitongole ekyobwananyini, abadde akuuma ku dipo ya soda yamukubye amasasi mu kibuga ky’eMasindi namutta.

Omu ku babadde akola nabo, atayagadde kumwatukiriza mannya agambye nti bamusse, bwebabadde batambula nga bamuteberezz okubeer omubbi.

Bannamwulire bakungaanidde ku ddwaliro ekkulu e Masindi, okwongera okuzuula ekyatuuse ku munaabwe.