Amawulire

Munnamawulire abatemu bamutemyetemye

Munnamawulire abatemu bamutemyetemye

Ivan Ssenabulya

May 26th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Munnamawulire mu district ye Mukono anyiga buwundu, bweyasimattuse abantu ababadde bagala okumusalako obulago bweyabadde agenze okusaka agakwata ku bye ttaka kampuni ya Madhvani kwe yabadde etandise okusimba e bikajjo mu district ye Kayunga.

Amon Mukasa yaasimatuse okuffa abasajja ababadde bakutte amajambiya bweba mukakanyeko ne batandika okumutematema n’okumukuba emiggo.

Bino by’abadde mu ggombolola ye Bbaale e Kayunga, ng’ono Kati ali mu ddwaliro lya International Medical Center  Mukono gyajanjabirwa.

 Akulira ekibiina ekigata banamawulire mu gwanga ekya Uganda Journalist Association (UJA) Arnold Mukoose ategezezza nga bwebamaze okukwatgana ne banamateeka okuvunaana ab’enyigidde mu kikolwa kino, eky’obutemu.