Amawulire

Munnamateeka bamukwatidde mu bufere

Munnamateeka bamukwatidde mu bufere

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Okunonyereza kwa poliisi nakakiiko aka State House Anti-corruption Unit kugenda mu maaso, ku misango egyekuusa ku bufere nobukumpanya okutrwala ettaka yiika 28 e Mukono.

Wiiki ewedde, poliisi yakutte munnamateeka Kenneth Nsubuga Sebagayunga, nabantu abalala okwabadde Zahura Shamim, Hakim Bigomba ne Musa Lukungu nebasimbibwa mu kooti.

Baavunaniddwa obufere, okujingirirra ebiwandiiko nokwekobaana okuzza omusango bwebaali bafuna ekyapa ku ttaka eryogerwako.

Ettaka lino lyali lya mugenzi Sarah Mulira, ngabavunaanwa kigambibwa nti emisango baagizza nga 11 August omwaka oguwedde 2021.

Sarah Mulira yafa mu June wa 2020 naleka ebyobugagga omwali nettaka ku Block 191 plot 275 ku byalo okuli Gwanya, Kinga ne Kapeke e Mukono neddala e Nsike Ndeeba mu Lubaga-Kampala.

Kigambibwa nti abavunaanwa bakozesa ebiwandiiko ebijingirire okukyusa ekyapa okudda mu mannya gaabwe, balyoke bewole obuwumbi 4 okuva mu Legacy Credit Ltd.

Bano bagamba nti baasasaula emitwalo gya $ 80 mu biwagu wabula famile y’omugenzi bweyazuula obufere buno, abavunaanwa nebamalamu omusubi, era babadde baliira ku nsiko.