Amawulire
Munnamateeka Afiridde mu Kabenje Kulwe Masaka
Omugenzi Nga bwabadde afanana
Bya Rita Kemigisa
Omuntu afiridde mu kabenje nabalala babiri nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka, oluvanyuma lwakebenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Akabenje kano kagudde mu Kabuga ke Lwengo nga katwaliddemu munnamateeka Maudah Atuzarirwe, abadde omusomesa ku ttendekero lya Law Development Center ngera yakulirako egwandisizo lya Uganda Registration Services Bureau.
Atwala poliisi yebidduka mu ttundutundu lya Greater Masaka, Scovia Birungi ategezezza nti akabenje kano kaguddewo amakya ga leero, ngomugenzi abadde avuga mmotoka kika kya Spacio, wabula nemuremere newaba okuva ku kkubo olwamataala agabadde gamukubyemu.
Bbo abekibiina ekitwala bannamateeka mu gwanga ekya
Uganda Law Society bakungungidde omugenzi.
Atwala ekibiina kino Francis Gimara ategezezza nti omugenzi alese abaana basattu songa nemirimu gye gyakujjukirwa nnyo.