Amawulire

Munnabyamizannyo Ssekitoleko ayimbuddwa

Munnabyamizannyo Ssekitoleko ayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa 

Poliisi daaki eyimbudde, omusituzi w’obuzito Julius Ssekitoleko gwebabadde bagalidde okuva ku lunnaku Lw’okutaano wiiki ewedde.

Ono yakwatibwa nga yakakomezebwawo okuva mu kibuga Tokyo mu gwanga lya Japan, gyeyali agenze okukikirira eggwanga mu mpaka za Olympics era abadde mu mikono gya bebyokwerinda wabula bamuyimbudde awatali musango gwonna gwebamuguddeko.

Ssekitoleko kigambibwa nti babadde bamunenya kusiwuuka mpisa, bweyatoloka mu nkambi nga yalina ekigendererwa okusigala mu japan.

Bino webijidde nga kooti enkulu ebadda etaddawo olunnaku lwanga 30 July 2021, okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.

Bannamateekaabe nga bakulembeddwamu Phillip Munaabi, okuva mu Wameeli & Company Advocates, bebabadde bawakanya okusibwa kwe, essaawa ezisoba mu 48.

Wabula omwogezi wekitongole ekinonyereza kubuzzi bwemisango ekya CID Charles Twine abasazeewo okuyimbula Ssekitoleko kuba abakungu ba kakiiko atwala ebyemizannyo mu ggwanga lino aka National Council of Sports tebanadda mu ggwanga.

Anyonyodde nti bamugyeko sitetimenti kati bakusigala nga bakola okunonyereza kwabwe nga nabakungu bwebakomawo okuva e Japan.