Amawulire

Munna FDC Salam Musumba Abusabuusa Akakiiko ka Bamugemereirwe

Ivan Ssenabulya

June 18th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssentebbe wekibiina kya FDC mu Buvanjuba bwe gwanga, Proscovia Salaam Musumba, abusabuusa nti obukiiko obubangibwawo ku nsonga ezitali zimu tebuyinza kugonjoola bizibu bya gwanga.

Munnabyabufuzi ono ateerya ntama ayogedde ku kakiiko komukulembeze we gwanga keyabangawo okunonyereza ku kibba ttaka akakubirizibwa omulamuzi wa kooti, Catherine Bamugemereirwe nti essubi ttono nti banadivaayo nekyokuddamu okumalawo enkayana ze ttaka.

Bwabadde ayogerako naffe, Musumba ategezezza nti kyandiba ngate obukiiko buno bukozesebwa ate okufuna amawulire okuva mu bantu, olwo abantu abatono nebamanya engeri yokubbamu bannansi nokubavuwaza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *