Amawulire

Mukome okuwandiisa abantu- abavuganya

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

Opposition on IDs

Abali ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala okuwandiisa abantu okufuna endagamuntu kuyimirizibwe

Bano bagamba nti tekutambulira ku mateeka nga y’ensonga lwkai kulimu emivuyo

Mu lukiiko lwa bannamawulire olwa wamu, akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu agambye nti tewali kigobererwa mu kuwandiisibwa bantu oba olyaawo kyekivuddeko n’abatalina biwandiiko okusanga obuzibu.

Otunnu era agamba nti ekitongole ekyetongodde kyekirina okukola ku kuwandiisa abantu mu kifo kya minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga

Otunnu agamba nti bakuvaayo n’ebbago erirambika okwemulugunya kwaabwe n’engeri ebintu gyebirina okukwatibwaamu