Amawulire

Muhakanizi akunyizibwa ne banne

Muhakanizi akunyizibwa ne banne

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Eyali omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule eye byensimbi Keith Muhakanizi, ne yali omumyukawe Patrick Ocailap ne yali dayirekita wa wa Budget at Finance Ministry Kenneth Mugambe balabiseeko leero mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebintu bya gavt aka COSASE. okutangaza ku byafulumira mu alipoota Auditor General kunkola ya kakiiko ke byettaka.

Ssentebe wa kakiiko kano Nakawa West MP Joel Ssenyonyi, atadde kunninga abakulu bano banyonyole lwaki bakkiriza okufuluma kwensimbi obuwumbi 10.6 ezaali ezokusasula abakosebwa mu byenkayana zettaka nga tebafunye lukusa.

Alipoota ya ssababalirizi we bitabo bya gavt yalaga nti waliwo emivuyo mingi egyakolebwa muntekateeka eno nga mwalimu nókuliyirira abantu emirundi egisoba mu gumu.

Alipoota era yalaga nti minisita yali talina lukusa lulagira kufulumya nsimbi zino kuba gwali mulimu gwa kakiiko ka Uganda Land Commission.