Amawulire

Mugabe afiridde ku myaka 95

Mugabe afiridde ku myaka 95

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2019

No comments

Bya Musasi waffe

Eyali omukulembeze we gwanga lya Zimbabwe n’amukadde Robert Mugabe, era eyakulemberamu okulwanirira obwetwaze bwe gwanga lino afudde ku myaka 95.

Afiridde mu gwanga lya Singapore gyabadde ajanjabirwa ekimbe, ekibadde kimubala embiriizi.

Famile ye ekakaksizza okufa kwe.

Kinajjukirwa nti Mugabe amagye gaamukwakkula mu ntebe mu in Novemba womwaka gwa 2017, Entebbe gyeyali amazeemu emyaka 30.

Ebitonotono ebikwata ku Mugabe, yazalibwa nga 21 mu Febwali wa 1924, mu Zimbabwe, ensi gyebaali bayita Rhodesia ebiseera ebyo.

Mu mwaka gwa 1964 Mugabe yakwatibwa nasibw amyaka egisoba mu 10 olwokuwakany abafuzi bamatwale.

Ngakyali mu kkomera mu mwaka gwa 1973, alondebwa ngomukulembeze wekibiina kya Zimbabwe African National Union, ekyalwanirira obwetwaze bw egwanga lino.

Oluvanyuma ekibiina kya ZANU kyajjululwa okufuuka ekibiina, ekyamanaayi era ekyateeka akaxzito ku bazungu wakati wa 1975 ne 1980 okufuna obwetwaze, era kyekikulembedde egwanga lino okuva olwo.

Omwoyo gwomugenzi Mukama agulamuze kisa, amusonyiwe byonna ebyamusoako.