Amawulire

Mufuti akubiriza abavubuka okwewala enkozesa embi ey’omutimbagano.

Mufuti akubiriza abavubuka okwewala enkozesa embi ey’omutimbagano.

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Supuliimu Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Galabuzi akubirizza abavubuka okwewala enkozesa embi ey’omutimbagano.

Bino Supreme Mufti abyogeredde ku mbuga y’eggombolola eya Ssaabagabo Kibibi, bw’abadde aggalawo enteekateeka y’okugaba omusaayi emaze wiiki ennamba mu ssaza ly’e Butambala.

Agambye nti ensangi zino abavubuka bettanidde nnyo okussa obubaka ku mutimbagano obutazimba bantu, n’abawa amagezi okugukozesa obulungi bagufunemu.

Atenderezza Ssaabsajja Kabaka olwa kaweefube gw’ataddewo mu kutumbula ebyobulamu mu ggwanga n’asaba abakulembeze abalala okumulabirako n’okumwenyumirizaamu.

Omwami w’essaza ly’e Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala, asabye abantu ba Buganda okukyusa engunjula y’abaana baabwe basobole okubaamu ensa.